Ddala Omusibe Afudde Kikutuko?

0
1109

Emirimu gyisannyaladde ku ddwaliro ekkulu e Nakaseke oluvanyuma lwa abatuuze abasoba mu 500 okuva ku Kyalo Nongo ekisangibwa mu gombolola ye Kikamulo mu ditrict ye Nakaseke okuzinda eddwaliro nga bagala okumanya enfa ya munnaabwe eyategeerekeseeko erya Kato abadde aweza emyaka 32.
Kigambibwa nti Kato eyali omuvuzi wa boda abadde mu nkomyo e Wakyato yagudde ekigwo ng’ava ku luzzi ne basibe bwe baabadde bagenze okukima amazzi n’afa.