Kabaka Asiimye Okuggalawo Empaka Z’amasaza

0
969

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggalawo empaka z’amasaza ga Buganda ez’omwaka guno, Gomba bwenaaba ettunka ne batabani ba mukwenda ab’e singo, nga 26 omwezi guno e Namboole.
Wabula gavumenti ya Beene akubirizza abantu b’Omutanda okukuuma empisa yonna gyebanaayita, mu kisaawe ate nemukuddayo.