Mbu Ababaka Baatulidde Museveni?

0
971

Ababaka ba paalimenti abooludda oluvuganya basiimye bannaabwe abali ku mu kibiina ekifuga ki NRM olw’okusimbira ekkuuli bbo kyebayise olukujjukujju lwa gavumenti ogwala okubba ettaka ly’abantu nga bayita mu nnoongoosereza.
Era mu paalimenti eyo, Gavt eronze akakiiko ka bantu Munaana okuddamu okwekkenenya ennongosereza zeeyagala zikolebwa mu tteeka ly’ettaka mweyagala okuyita okwezza ettaka ly’omuntu yenna ssinga eba erina enkulaakulana gyeyagala okussaako.
Ennongoosereza zino zaasooka nezireetebwa mu paalimenti wabula bannansi nebatazisanyukira, ekiwalirizza gavumenti eddemue zeekenneenye.