Ebikwata Ku Lunaku Lwa Arafat

0
1022

Obukadde n’obukadde bw’abasiraamu olwaleero bulumaze mu lusenyi lwa Arafat wali mu nsi entukuvu e Makkah ng’akamu ku bulombolombo bwa Haj. Abasiraamu baakedde kuva Mina neboolekera Arafat era ngeno gyebasiibye nga basaba ssaako okutendereza Allah. Olusenyu lwaArafat lukulu nnyo mu busiraamu anti weewano Omutume Nabbi Muhammad weyaweera Khutuba ye eyasembayo nga tannafa era nga weewano Allah weyassiza aya za Kulaani Ezambayo mweyagira nga Muhammad bweyali atuukirizza emirimu egyamutumwa. Abasiraamu abasoba mu bukadde 2 beebabadde mu Arafat olwaleero nga ku bano, eggwanga lya Indonesia lyaleeseeko 222,000 so nga Uganda yasindika abasoba mu 800.