Eby'ekyuma Ka Kookolo Bitabula

0
883

Uganda kyaddaaki efunye ekyuma ekikalirira abalwadde ba kkookolo oluvanyuma lw’ebbanga nga ekuma kyokka ekyaliwo e mulago kifudde.
Bannayuganda bamaze ebbanga nga balaajana olw’ebbula ly’ekyuma kino nga abalwadde bangi abatandifudde kkookolo abatutte, ate naabandi okusaasaanya omusimbi omungi okugenda ebinaayira okubakalirira.
Ekyuma kino kituusiddwa lwaggulo luno, wabula wekituukidde nga Bakakensa ne bannamawulire bakawuliddemu omusera anti bamaze ebbanga nga bakonkomalidde mu kifo ewabadde walina okuteekebwa ekyuma kino ekipya naye tekituusibwa.
Abasawo ababadde banekanekanye mu byambalo byabwe ebyeru bakanze kulinda nga buteerere nabadde alina okuba omugenyi omukulu DR Jane Ruth Aceng talabiseeko yadde omukugu yeena okuva mu ministry yebyobulamu.