Eby'ettaka Bigenze Wa Museveni

0
520

Ebimu ku byavudde mu nsisinkano ya pulezidenti n’ababaka ba NRM bizuuse wabula nga ng’ebimu bibuzaabuza. Waliwo omubaka agambibwa okunyiiza omukulu, kumpi kutuuka kumukuulako waya.
Omubaka ono afuuse ensonga naddala mu banne abaabadde mu lukiiko bwetwogeddeko naye, ate aweze enkolokooto nti ssi waakukkiriza kiteeso kya gavumenti, okutwala ttaka ly’abantu ssekinnoomu