Entiisa Egudde e Luwero

0
633

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’omu Kasoma zone mu Luweero tawuni kanso oluvannyuma lw’okusanga muwala wa mutuuze munnaabwe ng’afiiridde mu nnyumba ate banne babiiri nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Ekivuddeko enkyukwe eno tekinnategeerekeka wabula poliisi yabakanye dda n’ogwayo ogw’okunoonyereza so ng’omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Kasana okwongera okugwekebejja.