Oluguddo Lwa Musita Nga Teruggwa?

0
925

Ababaka abava mu Busoga bongedde okwemulugunya ekitongole ky’enguudo ekya UNRA nga baagala paalimenti eteekewo akakiiko ak’enjawulo kabuulirize ku ngeri UNRA gyegagabamu kontulakita zaayo.
Okwemulugunya kwabwe kusibuka ku ngeri UNRA gyeyagabamu kontulakita y’okuddaabiriza oluguudo oluva e Lumino, Musita, Mayuge ne lugguka e Namayingo gyebagamba nti ssi nnambulukufu.