Olutalo ku Siriimu, Ab'e Nansana Kati Basomesa Nju ku Nju

0
992

Disitulikiti y’e wakiso yeemu kwezo ezisinga okubaamu siriimu akawuka ka mukenenya nga kino kyeraaliikirizza abakulembeze n’okutandika okutema empenda ezokukendeezaamu obulwadde buno.
Abakulembeze ba disitulikiti eno nga bali wamu nebibiina byobwa nnakyewa babakanye ne kaweefube w’okubangula abantu ku bulwadde buno ku luno nga bagenda nju ku nju.