Ow'essomero Afudde Kibwatukira

0
897

Police e Mukono eri mu kunoonyereza ku nfa ya Mubiru Ronald abadde nannyini ssomero lya Mukono Junior school erisangibwa mu kibuga Mukono asangiddwa ku nkya ya leero ng’afiiridde mu maka ge mu ngeri etategeerekesse.
Okusinziira ku Naluyange Bennah namwandu, omugenzi yazeeyo ewuwe ekiro ku ssaawa 4 nga tali mu mbeera ze eza bulijjo era n’aggukira mukisenge awatewali kunyege. Bugenze okukya nga Mubiru takyawuuna, anti ng’olumbe lwamazeemu dda omukka