Munnamagye Asengudde Byalo E Nakaseke

0
1140

Abatuuze n’abalunzi abasoba mu 1000 e Kinyogoga Nakaseke bali mu kusatira oluvanyuma lwomuserikale wa UPDF ali kudaala lya Major okubalagira bamuke ettaka eliweza mile 10 nga agamba nti lirye bwooya, wadde nga nabantu nabo bakakasa nti kuno kwebawangalidde emyaka n’ebisibo. Bano bagamba nti omuserikale ono eyelimbise okuba nanyini wa kampuni ya A. Dean company ltd eye Kampala, babadde tebamumanyi mukitundu balabidde awo nga alasse ente naziteeka mutaka lyabwe nga zikumibwa abaserikale ba UPDF mukiseera kya Kalatini eziyiza okutambuzibwa kwe Bisolo mu gombolola yabwe. Kuttaka lino era kuliko akatale kebyamaguzi n’ente nga nako kolekedde okusanyizibwawo omuserikale ono singa aba takububiddwa ku mukono.