Wakayima Poliisi Emukutte

0
1056

Tiyaggaasi n’amasasi binyoose e Nansana nga police egumbulula abawagizi ba wakayima musoke eyaggyibwa mu paalamenti wiiki ewedde olw’ebiwandiiko ebitakwatagana. Wakayima abadde ayise olukungana lwa bannamawulire abategeeze emiwaatwa egiri mu nsala ya kkooti ejulirwamu, gy’agamba nti y’eyasinza obujulizi ate Kasule eyamuwaabira n’asinga omusango.