Eby’emyaka Babyongezzaayo, Mwetegekere Wiiki Ejja

0
1083

Paalimenti ewaliriziddwa okuyimirira olw’eggulo lwa leero oluvannyuma lw’ababaka ab’oludda oluvuganya okulemesa Omumyuka wa sipiika Jacob Oulanyah, okubaako okulungamizibwa kwakola. Ebbugumu mu lutuula lwaleero libadde lya maanyi ddala, newankubadde nga sipiika asoose okutegeeza nga ekiteeso mulindwa ekyokusaba okuleeta ekiteeso ky’okukyusa mu ssemateeka kibadde kyongezeddwayo. Sipika okutuuka okuyimiriza olutula luuno, kdidiridde ababaka okulemesa ssaabaminisita Dr Ruhakana Rugunda okubanyonyola lwaaki gavumenti eyiye amagye ku palamenti, ekikaluubirizza ababaka okuyingira ekizimbe mwebakolera.