Kanyeihamba Alabudde Kadaga

0
1373

Omulamuzi eyawummula Prof George Kanyeihamba avuddeyo n’anenya sipiika wa paalimenti Rebecca Alitwala Kadaga olw’obutalekera mumyuka we Jacob Oulanya nsonga eno ey’okuwuliriza okusaba kw’omubaka Magyezi okuleeta ekiteeso ekikwata ku nnongosereza ku tteeka elikwata ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga. Kanyeihamba agamba nti sipiika okwewala okuswala, yandirekedde Oulanya amanyiddwa nti munna NRM lukulwe okutuula mu nsonga zino. Bushrah Namirimu yawayizzaamu kko naye.