Wuuno Omuyizi Avuga Abagole

0
1284

Olugero olugamba nti Ky’osimba onaanya ky’olyako ettooke lutuukira ddala ku mbeera y’ensi ekyukakyukamu, ekiwalirizza abazadde okuweerera n’okuyigiriza abaana baleme kwejjusa gyebujja. Wuuno mwana muwala Cynthia Nagita ow’emyaka 21, avuga bagole kyokka nga bw’asoma amateeka. Ono si agamba wakwabulira mulimu guno newankubadde ebigendererwa bye bya kulwanirira ddembe lya bakyala.