Ababaka Tebakaanyiza Ku Myaka

0
816

Ababaka ba palamenti ab’akabondo ka NRM abataayitiddwa mu lukiiko lw’okuyisa ekiteeso eky’okujja ekkomo ku myaka ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga bavudde mu mbeera olw’okubasosola. Ababaka bano abamanyiddwa okwogera akaati, bagambye obutabayita mu lukiiko luno olutudde ku paalimenti kabonero akalaga nti ekiteeso ekireeteddwa kya kulya mu gwanga lukwe.