Abalokole Bavuganya Na Bidongo e Mukono, Abatuuze Basula Mu Mbeekuulo

0
858

Olukiiko olukulembera ekibuga Mukono luli mu kukungaanya biroozo ku tteeka erinaagufuula omusango eri amasinzizo naddala ekkanisa z’abalokole wamu n’ebidongo ebireekaanira mu kibuga okukeesa obudde nebimalako banmamukono emirembe. Okusinziira ku meeya w’ekibuga George Fred Kagimu, bannamukono bangi babatuukiridde ng’abakulembeze nga beemulugunya ku mbeekuulo ezivugira mu buli kasonda mu kibuga okuviira ddala mu bitundu gyebasula okutuusa mu kibuga mwebakakkalabiza emirimu gyabwe.