Bannakyewa Batwala UCC Mu Mbuga

0
567

Akulira akakiiko akarondoola ebyempuliziganya Uganda Communications Commission Godfrey Mutabaazi atangazizza nti okugaana emikutu gy’amawulire okulaga obutereevu ebyabadde bigeenda mu maaso mu paalimenti yakikoledde mu mateeka agakolebwa ababaka bennyini abaabadde balwaana. Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo omuli n’abalwanirizi b’eddembe okutandika okumusongamu ennwe nti yakoledde ku biragiro bya gavumenti okubikkirira ebyabadde bigeenda okuddirira mu lutuula lwa ggyo.