Dereeva wa Abiriga Naye Wa Kyenvu

0
1237

Bwosisinkana Asuman Matovu ngono ye Dereva w’omubaka owa Municipali ye Arua Ibrahim Abiriga osigala ewunya anti atukiriza olugero olugamba nti mbulira gwoyita naye nkubulire empisa, anti naye ayambala bya Kyenvu.
Bwosooka okumulaba oyinza okulowooza nti ali ku biragiro bya mukama we anti ye Abiriga buli kyayambala kiba kya Yellow. Wabula Asuman Matovu agamba nti ye okusalawo okwambala Yellow akikola butaswaza mukama we.