Kiggundu Ayogedde Kuby'akalulu e Kenya

0
660

Bw’oyogera ku Byokulonda mu Uganda. Dr Badru Kiggundu ajjukirwa bangi oluvannyuma lw’okumala emyaka 14 nga y’akulembera akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda, wakati wa 2002 ne 2016. Abavuganya gavt mu Uganda bamaze emyaka nga basaba kkooti zisazeemu Dr. Kiggundu by’azze alangirira, naddala ku mutendera gwa Pulezidenti naye nga bonna balemererwa okukakasa kooti lwaki ekola kino. Ku kibadde e Kenya olwaleero, NBS enoonyezza Dr Kiggundu era netwogerako naye, kyokka naye agamba nti ekigudde e Kenya kimukanze.