Kkooti Ekoze Ekitabangawo, Akalulu K'akudibwamu e Kenya

0
850

Kkooti ensukkulumu mu ggwanga erya Kenya esazizzaamu okulondebwa kwa Uhuru Kenyatta ku bwa pulezidenti bw’e ggwanga eryo, nga ekkiriziganya ne Raila Odinga nti okulonda okwaliyo omwezi oguwedde kwalimu ebirumira era tekwatambulira ku mateeka. Abalamuzi bana ku abo omukaaga abatuula ku kkooti eno bakkiriziganyizza bukuyege nti akakiiko k’ebyokulonda e Kenya tekaagoberera mateeka mu kutegeka akalulu kano, olwo nebategeka ekintuntu ekiri awo ekyafaanaanyirira okulonda naye nga bannansi byebaagala si byebyeyoleka. Kkooti bw’etyo eragidde, okulonda kuno kuddibwemu obutasukka nnaku 60.