Omukazi Omulala Attiddwa mu Ntebe

0
1267

Oluvannyuma lw’okwatibwa kw’omusuubuzi w’ebyennyanja ku Mwalo gw’e Kasenyi Ivan Katongole ne banne nga bateeberezebwa okuba emabega w’ettemu lino eri abakyala era nebatwalibwa mu kkooti e Ntebe bawerennembe n’emisango ate abakazi bakyayongera okuttibwa mu bitundu by’e ntebe Ettemu libadde lisiriikiriddemu era ng’obunkeke mu bantu bubadde bukendedde wabula enkya yavleero mawulire waliwo omulambo gw’omuwala omulala ogusangiddwa. Kino nno kirinnyisizza omuwendo gw’abakyala abaakattibwa mu ngeri y’emu nga kati bali 12 nga tewannayitta na lunaku okuva omulambo gwa Harriet Natongo bwegwazuuliddwa e Nkumba Bukolwa mu Bwayiise Zooni mu Town Council y’e Katabi, ag’attiddwa era mu ngeri yeemu.