Poliisi Yeerize N'abayizi ba Makerere

0
926

Poliisi ekutte abayizi abasoba mu 10 ab’ettendekero ekkulu e Makerere olw’ekwenyigira mu kwekalakaasa olw’okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw’ayinza okwesimbira ku bukulembeze w’eggwanga. Abayizi bano ababadde mu bibinja, basannyalazza emirimu munda mu ttendekero, ate nebamala nebadda ku muliraano mu Kikoni abayizi abasinga gyebasula. Eno abayizi bassizza emisanvu mu luguudo wabula oluvannyuma poliisi ezzizza embeera mu nteeko.