Aba Faaza Jacinto Bawanjaze

0
980

Abakulembeze b’enkiriza ya Evangelical Orthodox Church mu Uganda bawanjagidde Gavumenti okusooka okulwanyisa ettemu omufiira abakazi entakera kub erina obusobozi obumala okuzza embeera mu nteeko.
Bano abakulembeddwamu akulira enzikiriza eno, Bp Tom Kiiza babadde mu kaweefube wa kusonda nsimbi ez’okudduukirira amalwaliro ga Gavt agali obubi ennyo .
Eno yeemu ku nteekateeka y’ebikujjuko byabwe ebikulembedde gyokutuuza Fr. Jacinto Kibuuka mu ntebe y’obwa bishop w’enkiziriza eno mu masekkati ne mu buvanjuba bwa Uganda.
Fr. Jacinto Kibuuka yagobwa mu buweereza bwa kelezia gyebuvuddeko lwa kujeemera bakama be kwe kwegatta ku Evangelical Orthodox Church.