Endooliito Ku Ttaka Zizzeemu

0
1078

Abatuuze ku mwalo gwe Kigaya ogusangibwa mu gombolola ye Najja mu disitulikiti ye Buikwe bali mu ntisa olwa munabwe agambibwa okuba nga yakubibwa abebyokwerinda abali ku mwalo guno nga bakuuma ettaka lya minisita owa mazzi Ronald Kibuule. Waswa Diika kati omugenzi okukubibwa oluvanyuma naffa kigambibwa nti abasirikale abakuuma ettaka erigambibwa nti minisita Kibuule yaligula bamuyisamu ensambagere olwe nkayaana ezirudde nga abatuuze bemulugunya olwo gugobaganyizibwa ku ttaka lino kwebatudde.