Minisita Kibuule Yeesamudde

0
994

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byamazzi Ronald Kibuule avuddemu omwasi ku nsonga z’ettaka ly’o ku mwalo gwe Kigaya mu ggombolola y’eNajja mu disitulikiti y’e Buikwe abatuuze lye bazze bamulumiriza okubagobaganyako n’okutulugunyizibwa abebyokwerinda nga ne munnaabwe Dick Wasswa yatuuse n’okufiira mu kavuyo kano. Kibuule agamba nti ku ttaka elyogerwako, alinako yiika 85 zokka era nti yazigula mu bulambulukufu okuva ku Musa Kateregga nga n’ebiwandiiko abirina. Ono era yeegaanyi okuba n’omukono mu nfa ya Wasswa.