Ettaka Ly'e Kigaya, Jjaja wa Kabaka Agamba Lirye

0
1133

Ensonga z’e ttaka ly’e Kigaya mu ggombolola ye Najja Mu disitulikiti ye Buikwe abatuuze lye bavunaana Minisita wa mazzi Ronald Kibuule okubagobaganya ko ziranzzeanti olwaleero Jjajja wa Kabaka nga ono yaliko Namasole Natooro Sarah avudeyo ku bwananyini bw’e ttaka elyogerwako. Yenno agamba nti ettaka lino lyeri era tewali alirinako buvunaanyizibwa mulala. Ensoga zino zaayongedde okulinnya enkandago wiiki ewedde, Buganda Land Board, ekitongola kya kabaka eky’ebyettaka bwekyavuddeyo nekiragga nti ettaka lino buli agamba nti alirinako ekyapa asale malala, kubanga ekyapa ekituufu kiri mu kkabada e mengo kikuumibwa butiribiri.