Kanisa Etabukidde Kyabazinga

0
1122

Wabaluseewo obutakkaanya wakati w’ekanisa ya Uganda e Jinja n’obwakyabazinga bwa Busoga ng’ekanisa erumiriza Obwakyabazinga okwagala okubba ettaka.
Kigambibwa mbu Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala yalagira abakuumi ba kyabazingaabaali babagaladde n’emigemera wala okulambula n’okupima ettaka ly’ekanisa ne bamenya n’omukungu w’ebyettaka ly’ekanisa, Waako Stephen ekigere bweyali agenze okulaba ogubadde.