Abapoliisi Mu Kkooti Y’amagye

0
698

Abapoliisi musanvu n’abagwira babiri leero bavunaaniddwa mu kkooti y’amagye e Makindye, n’oluvannyuma nebasindikibwa mu kkomera gyebavaava omwezi ogujja. Mu bavunaaniddwa okuwamba n’okubuzaawo abantu kubadde abapoliisi ab’amayinja okuli Joel Aguma abadde akulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa nenNixo Agasirwe eyakuliranga ebikwekweto eby’enjawuo mu poliisi, abagambibwa okuwamba bannansi ba Rwanda nebabazza ewaabwe ku mpaka. Kabadde kaseera akatakkirizika eri abalabi, okulaba bebayita ab’amaanyi nga bassiddwa obunnyogoga ku mikono.