Abawagira Muhoozi Besowoddewo

0
469

Nga kaweefube w’ababaka okwebuuza ku balonzi kuby’emyaaka bw’agenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, waliwo abavubuka abeeyita aba MK Generational Presidential Youth Group abavuddeyo olwaleero nebasaba mutabani w’omukulembeze w’eggwanga Maj. Gen Muhoozi Kainerugaba yeensimbewo ku bukulembeze bw’eggwanga. Bano bakulembeddwamu Jamil Kazibwe. Bagamba nti Muhoozi ye yekka gwebalamu omulamwa, anaasobola okutambuza eggwanga obulungi sso ng’ali na mu myaka gya kivubuka.