Abawagizi Ba Bobi Wine Baagala Bobi ku Stegi

0
1130

Abawagizi b’omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine bawadde Poliisi nsalesale wa naku musaanvu zokka okugya ekkoligo ku bivulu bya Bobi Wine. Bano era batadde akazito ku Poliisi ebabulire tteeka ki lyekozesa okugoba Bobi wine mu wofiisi. Gyebuvuddeko Poliisi yalemeseza Bobi wine okuyimba nga bagamba nti ebivulu bye kati abikozesa kukuma muliro mu bantu nakuzanya byabufuzi.