Abayizi Bavudde Mu Mbeera, Mbu Bakooye Kawunga

0
544

Abayizi b’ettendekero ly’ebyemikono erya Kabasanda Technical
Institute bekalakaasizza neboonoona ebintu by’essomero ebiwerako nga bawakanya engeri gyebasomesebwamu saako nemmere gyebabawa nga bagamba balya cacu ate era nebasuzibwa bubi, awafunda ate nga wacaafu so nga ssente basasula bulindo.
Bano bagamba nti embeera gyebalimu ku ttendekero lino mbi nnyo nga baagala gavumenti ebayambye ku baddukanya ettendekero lino.