Ab'e Mpigi Bagaanye 'Okugikwatako'

0
435

Omubaka wa Mawokota North era nga ye Minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero Amelia Kyambadde asoomozezza gavumenti okwongera ku bungi bw’emirimu naddala mu bavubuka olwo lweneefuna obuganzi mu bbo.
Kyambadde bino yabyogedde ne NBS Television oluvannyuma lw’olukungaana lwe olusookedde ddala okwebuuza ku bantu ku nsonga y’okukola ennongosereza mu kawayiro aka 102b aka ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga okwatandikidde mu town council y’e Mpigi.