Byandala bamukkiriza ‘Agikwateko’

0
1144

Omubaka akikilira abantu be Katikamu North mu parliament Engineer Abrahamu Byandala bwabadde yebuuza ku balonzi bakikilira ku byokujja akawayiiro 102 (b) aka semateeka we ggwanga ,alumbye babaka banne nabantu abalala abawakanya enongoserezza mu ssemateeka we ggwanga nategeza nti bawaba era tebategeera kigenda mumaaso. Ono agamba nti omubaka Raphael Magyezi alina eddembe okwanja ekiteeso ekya sekinomu mu palimenti awatali ku lemesebwa singa ekiteeso ekyo kiba tekitateganya ensako nensasanya ye ggwanga.