Emisege Gikumalawo’, Kayihura Alabudde Museveni

0
878

Omuduumizi wa poliisi ya Uganda Gen. Edward Kale Kayihura kyaddaaki aloopedde Presidenti Museveni nti abaagala okusuula gavumenti ye beebo bennyini abamwetoolodde. Gen Kayihura abadde akyazizza president Museveni gyasibuka e Kisoro ku mukolo ogwokwebaza katonda olw’ebirungi byamutuusizzaako n’okusabira kataawe omugenzi John Kalyekeezi.