Katumba Wamala Yeesamudde Ekyokukuba Omubaka Zaake

0
863

Generali Katumba Wamala asekeredde omubaka wa Municipali ye Mityana Zzaake Francis agenda akimusaako nti yamukuba engumi enzito eyamutuusa nekukitanda. Generali Katumba Wamala agamba nti ono aba mukuba Kikonde ate kyandibadde kirala, wabula akiriza nti yamulabula ng’afuuse ekitagasa mu Palamenti kuba ye byeyali akola nga bikolebwa mwana wa Kyeejo.