Mbu Omusumba Kakande Yabba Ettaka

0
1337

Omusumba w’omu Kampala Samuel Kakande ng’ono yeyita Nabbi bamulumirizza okubba obwaguuga bw’ettaka n’ekigendererwa eky’okwegaggawaza. Kitegeezeddwa nti Nabbi Samuel Kakande yeesenza ku ttaka eriwezaako obwagaagavu bwa Square mayiro nnya (4), kweyasimba omuceere n’ebikajjo. Bino byebimu ku bizuuliddwa akakiiko akanoonnyereza ku mivuyo egyetobese mu byettaka, akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire nga mu kiseera kino katuula kali mu bitundu by’e Masaka