Minisita Kibuule Yeegaanye Eby'okutwala Emmundu mu Paalimenti

0
481

Minista omubeezi ow’amazzi n’obutonde Ronald Kibuule, avuddeyo neyeegana ebigambibwa nti yakukusa emmundu mu lutuula lwa paalimenti olwaliwo ku lwokubiri lwa wiki ewedde ekyaleetawo akajagalalo mu babaka.
Kibuule nga ayogerako noomusasi waffe, awolezezza ne minisita mu munne owa Kampala Beti Namisango Kamya abangi gwebasonze olunwe nti yeyafulumya emmundu ya Kibuule nga ababaka bamutabukidde, nga baabuwe mukazi wattu bamulanga bwemage.
Bushra Namirimu abadde Mukono ewa kibuule.