Ppaaka Y'omu Kitooro Eggaddwa

0
369

Emirimu gisannyaladde mu Park y’omu Kitooro e Ntebe ekya ya leero oluvannyuma lw’ababaddukanya ekibuga kino okulagira taxi wamu n’emmotoka za buyonjo ezibadde zikolera mu Park eno okugyamuka bunnambiro. Kino kiddiridde abakulembeze ba Munisipaali y’e Ntebe mu Wakiso okuwandiikira abakolera mu park eno okubawa nsalessale wa nnaku z’omwezi 5 October 2017 nga bavudde mu Park eno kibasobozese okugizimba ekifo kino kituukane n’omutindo gwekibuga.