Pulezidenti Museveni Awemukidde Abasumba

0
887

Pulezidenti Yoweri Museveni asabye abakiriza okuba abagendereza eri abasumba ebenoonyeza ebyabwe abeyongedde mugwanga nga agamba nti bano mukifo kyokubatwala mugulu bandibatwala mukubo lya sitani. Presidenti nga yabadde omugenyi omukulu kumukolo ogwokusabira egwanga ogwa National prayer Breakfast ogwo mulundi ogwe 19 agambye nti banayuganda bamanye nti wadde okusaba kwetagiisa tekitegeeza kusiiba nakusula mumasinzo kubanga balina okukola okusobola okufuna ekyokulya.