Sipiika Kadaga Teyejjusa

0
861

Omukubiriza wolukiiko lweggwanga Rebecca Kadaga abamusojja ku luwonzi abawadde ga buwa munuune ku vvu kubanga ye tagenda kwetondera muntu yenna ku byaliwo mu paalimenti gyebuvuddeko mweyalagiraia bafulumye ababaka ku mpaka ,paalimenti emale ecankalane Kadaga agamba nti byonna ebyatuukawo ku lwa 27/9 Tabyejjusa kubanga yabikola abigenderedde ate ngabitegeera bulungi nnyo kubanga yali aloga jjogo nabunyoomi bwababaka