Sipiika Ayanukudde Ssaabalabirizi ku By'abasawo

0
764

Sipiika wa Paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga awolerezza ekitongole ky’akulira nga lwana okulaba nga abasawo badda ku mirimu. Bino Kadaga abyogeredde ku paalimenti olwaleero, oluvanyuma lwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda entukuvu Stanley Natagali okusoomooza paalimenti ebeeko kyekola ku kutaasa obulamu bwa bannansi, naddala okulaba nga abasawo badda ku mirimu.