Waliwo Ababaka Abalimu 'Obuyisa'

0
894

Ababaka ba paalamenti abakyala abegatira mu kibina kyabwe ekya Uganda Women Parliamentary Asociation batabuddwa eka ne mu kibira olwa ababaka bannaabwe abasajja abayitirizza okulinyirira eddembe lyabwe nga babatiginyatiginya mu nkubo za palamenti. Ababaka bano ababade begatiddwako abakyala abalala okuva mu bibiina binnakyewa ebilwanirira edembe lya abakyala mugwanga bagambye nti singa ababaka abetanidde omuze guuno tebagukomya bakubanika ensi yona emanye ababaka abaami bakagwa ensonyi baano.