Engoma Mujaguzo ne Kawulugumo

0
1521

Okuva edda n’edda Obwakabaka bwa Buganda bwabanga n’ebifo by’enkizo era nga bitwalibwa nga bya njawulo nnyo era okuyimirira obuwangwa n’ennono z’obwakabak. Engoma mujaguzo erudde ng’etwalibwa okuba nga yankizo nnyo, ekubwa Kabaka yekka era omulangira gy’akuba ng’alinnya ku Namulondo nga mubuufu obwo, y’evaako ekigambo “okulya engoma.” Omusasi waffe Twaha Mukiibi alambudde embiri e Kabowa ewasangibwa engoma ebbiri, Kawulugumo ne Namanyonyi.