Ababaka Babaka Baddukide Mu Kkooti

0
259

Abamu ku babaka ba paalamenti abawakanya ebbago ly’etteeka ly’omubaka Raphael Magyezi eriruubirira okuggya ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bwapulezidenti baddukidde mu kkooti ya East Africa nga bagisaba eyimirize paalamenti ya Uganda okukubaganya ebirowoozo ku bbago lyerimu n’okuliyisa. Omubaka w’e Manjiya County era nga wa NRM John Baptist Nambeshe nga y’omu ku bagenze mu kKooti atutegeezezza nti bw’otunuulira ebigenda mu maaso kati, kkooti eno yokka y’esobola okutaasa Bannayuganda obutakwata ku nyingo ya ssemateeka 102(b).