Abakulira 'Redpepper' Baasuze Nalufenya

0
254

N’olwaleero wofiisi z’ekitongole ky’amawulire ekifulumya olupapula lwa The RedPepper kikyasaliddwako ng’enjogera y’ennaku zino bweri nga poliisi olwaleero ekakasizza nti embeera yaakusigala bwetyo okutuusa ng’okunonyereza kweriko kuwedde. Kino kiddiridde amawulire agafulumizibwa olupapula luno nga ennaku z’omwezi omwezi guno agaalambika nti Gavumenti y’akuno yalina enteekateeka esuula Gavumenti y’okumuliraano e Rwanda era awo emberebezi weyavudde. Munnaffe Bushra Namirimu azzeeyo ku kitebe kya RedPepper era embeera agisanze bweti.