Abalonzi e Nakaseke Bakaayidde Gavumenti Eriko

0
686
Abantu b’e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke batumye omubaka waabwe Luttamaguzi Ssemakula ku ky’emyaka nti abeere mugumu nga lwazi. Abalonzi beeno bakuutidde omubaka wabwe nti asibire ekikookolo enteekateeka yonna enaayanjibwa mu parliament nga yeekuusa ku kukola ennongoosereza mu ssemateeka w’eggwanga okuggyamu 102 (b) essa ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.