Abasawo Abamu Bazzeemu Okujjanjaba e Nakaseke, Ekisa Kibakutte

0
460

Abalwadde abamu mu bitundu by’e Bulemeezi bafunye ku kalembereza oluvannyuma lw’abasawo okubakwatirwa ekisa nebaddayo mu malwaliro okukola bataase abalwadde abasinda olw’endwadde ezibabala embiriizi. Mu buwufu bwebumu, waliwo munnabyabufuzi agulidde abalwadde ebitanda n’emifaliso bawone okunyigibwa enkokoto kwebeebaka nga bagenze mu malwaliro ga gavt.