Asiika Cipusi Bamukubye Mizibu

0
652

Omuwala omufumbo ategerekesse nga Leah Namatende atemera mu myaka nga 20 akwatidde lubona mukiro nga abba obumonde ku midaala gya batuzze bane ku kyalo Kisowera ekisangibwa e Nama mu disitulikiti ye Mukono. Ono asangidwa ku makya nga asibiddwa omuguwa ku mukono aleme kuduka oluvanyuma lwo kukubibwa emizibu mukiro wamu ne bakyala bane okumuyisa mu empi ezokumukumu nga bamulanga okubaswazza.