Bemwakwata ku Mpaka Baliwa? – Kkooti Ebuuza

0
433

Kkooti eragidde gavumenti mu bwangu ddala ereete abasibe abana abaayimbulwa ku kakalu ka kkooti gyebuvuddeko ate nebaddamu okukwatibwa abasajje abaalina emmundu. Kkooti mu kiragiro kyayo eragidde bano baleetebwe oba balamu oba bafu, olwo kkooti etunule mu nsonga zaabwe erabe ekyokubakolera.